Daniel 5:1 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Berusazza yateekereteekera abaami be lukumi (1,000), embaga makeke, n'anywa nabo omwenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Belusazzari kabaka, yagabula abakungu be lukumi ekijjulo makeke, n'anywa nabo omwenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Berusazza kabaka yafumbira embaga ennene abaami be lukumi, n'anywera omwenge mu maaso g'abo olukumi.