Daniel 5:11 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu, ne mu mirembe gya kitaawo omusana n'okutegeera n'amagezi, ng'amagezi ga bakatonda, byalabikira mu oyo, era kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n'amufuula omukulu w'abasawo, n'abafumu, n'abalogo n'abalaguzi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, alimu mwoyo wa balubaale abatukuvu. Ne mu mulembe gwa kitaawo, okulengera ewala, n'okutegeera, n'amagezi ng'aga balubaale, byalabikira mu musajja oyo. Ssekabaka Nebukadunezzari kitaawo, n'amufuula omukulu w'abalaguzi, n'abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu: ne mu mirembe gya kitaawo omusana n'okutegeera n'amagezi, ng'amagezi ga bakatonda, byalabikira mu oyo: ne kabaka Nebukadduneeza kitaawo, kabaka, kitaawo, n'amufuula omukulu w'abasawo, n'abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi: