Daniel 5:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga omwoyo omulungi ennyo, n'okumanya, n'okutegeera, n'okulootolola ebirooto, n'okutegeeza amakulu, n'okunnyonnyola ebikisiddwa, byalabikira mu Danyeri oyo, kabaka gwe yatuuma Berutesazza. Kale bayite Danyeri, naye anaakutegeeza amakulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga alina omutima omulungi, muntu mugezi, era mumanyirivu mu kuvvuunula ebirooto, ne mu kunnyonnyola ebikisiddwa, era n'ebintu ebizibu okumanya. Kale bayite Daniyeli oyo, ssekabaka gwe yatuuma erinnya Belutesazzari, ye anaakutegeeza amakulu g'ekiwandiiko ekyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga omwoyo omulungi ennyo, n'okumanya, n'okutegeera, n'okulootolola ebirooto, n'okulaga ebigambo eby'ekyama, n'okuzingulula ebyabuusibwabuusibwa, byalabikira mu Danyeri oyo, kabaka gwe yatuuma Berutesazza. Kale bayite Danyeri, naye anaalaga amakulu.