Daniel 5:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abagezigezi, n'abafumu, baleeteddwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo, naye ne batayinza kutegeeza makulu ga bigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abawi b'amagezi n'abalaguzi baleeteddwa wano mu maaso gange, basome ebyo ebiwandiikiddwa, era bantegeeze amakulu gaabyo, naye ne balemwa okulaga amakulu g'ebigambo ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano abagezigezi, abafumu, bayingizibbwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo: naye ne batayinza kulaga makulu ga kigambo ekyo.