Daniel 5:16 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe nkuwuliddeko, ng'oyinza okulootolola n'okunnyonnyola ebikisiddwa, kale bw'onooyinza okusoma ebiwandiikiddwa ebyo, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, onooyambazibwa olugoye olw'effulungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, era onooba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe mpulidde bakwogerako, nti oyinza okuvvuunula amakulu agakisiddwa, n'okunnyonnyola ebizibu okumanya. Kale bw'onooyinza okusoma ebyo ebiwandiikiddwa, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, ojja kwambazibwa ekyambalo ekya kakobe eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, ogwambalwa abakungu, era obe omukulu owookusatu mu bwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe nkuwuliddeko, ng'oyinza okulootolola n'okuzingulula ebibuusibwabuusibwa: kale bw'onooyinza okusoma ebiwandiikiddwa ebyo, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, onooyambazibwa olw'effulungu, era oliba n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, era oliba mukulu ow'okusatu mu bwakabaka.