Daniel 5:17 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Danyeri n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti, “Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala, naye nze nnaakusomera Ayi kabaka ebiwandiikiddwa, ne nkutegeeza n'a makulu gaabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Daniyeli n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti: “Ebirabo byo n'empeera yo byesigalize, oba biwe mulala. Naye nze, ayi Ssaabasajja, nja kukusomera ebyo ebiwandiikiddwa, era nkutegeeze amakulu gaabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Danyeri n'addamu n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala: era naye naasomera kabaka ebiwandiikiddwa, ne mmutegeeza amakulu.