Daniel 5:19 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu maaso ge: yattanga gwe yayagalanga okutta, era yasonyiwanga gwe yayagalanga okusonyiwa, yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna baatyanga ne bakankana mu maaso ge. Yattanga gwe yayagalanga okutta, n'ataliza gwe yayagalanga okutaliza. Era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, n'atoowaza gwe yayagalanga okutoowaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu masao ge: yattanga gwe yayagalanga okutta; era yalamyanga gwe yayagalanga okulamya; era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza.