Daniel 5:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Berusazza, bwe yali ng'anywa ku mwenge, n'alagira baleete ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi ye n'abaami be, n'abakyala be, n'abazaana be, babinyweremu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Belusazzari bwe yanywa ku mwenge n'awoomerwa, n'alagira baleete ebikopo ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadunezzari kitaawe bye yaggya mu Ssinzizo e Yerusaalemu, ye kabaka, n'abakungu be, n'abakyala be, era ne baganzi be, babinyweremu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Berusazza, bwe yali ng'alega ku mwenge, n'alagira okuleeta ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi: kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, babinywese.