Daniel 5:20 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omutima gwe bwe gwegulumiza, n'omwoyo gwe ne gukakanyala bw'atyo n'okukola n'akola eby'amalala, n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'aggyibwako ekitiibwa kye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yeekuza n'akakanyaza omutima gwe, n'akola eby'okwekulumbaza, olwo n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'aggyibwako ekitiibwa kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omutima gwe bwe gwegulumiza, n'omwoyo gwe ne gukakanyala bw'atyo n'okukola n'akola eby'amalala, n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, ne bamuggyako ekitiibwa kye: