Daniel 5:21 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agobebwa okuva mu bantu, omutima gwe ne gufuulibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'alyanga omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusulo ogwo mu ggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda ali waggulu ennyo ye afuga bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa yenna gwaba ayagadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agobebwa n'ava mu bantu, amagezi ge ne gafuulibwa ng'ag'ensolo, n'abeeranga wamu n'entulege, n'alya omuddo ng'ente. N'asulanga ebweru, n'atoba omusulo ogumugwako, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era nga buli gw'aba ayagadde okubuwa gw'abuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agobebwa okuva mu baana b'abantu: n'omutima gwe ne gufuusibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'aliisibwa omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusolo ogw'omu ggulu: okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali waggulu ennyo ye afuga mu bwakabaka bw'abantu, era ng'akuza ku bwo buli gw'ayagala.