Daniel 5:23 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu, ne baleeta ebintu ebyo mu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinyweramu omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era amanyi engeri zo zonna, tomuwadde kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weepankidde ku Mukama w'Eggulu, ne baleeta mu maaso go ebikopo eby'omu Ssinzizo lye, ggwe, n'abakungu bo, abakyala bo, ne baganzi bo, ne mubinyweramu omwenge, n'otendereza balubaale aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ekikomo, ab'ekyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, abatawulira, era abatategeera. Naye Katonda oyo alina obuyinza ku bulamu bwo, era abulabirira mu byonna tomusizzaamu kitiibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu: ne baleeta ebintu eby'omu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinywesa omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera: ne Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era nannyini makubo go gonna, tomuwa kitiibwa: