Daniel 5:29 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olugoye olw'effulungu, omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era n'alangirirwa okuba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Belusazzari n'alagira ne bambaza Daniyeli ekyambalo ekya kakobe eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, ogwambalwa abakungu, era ne bamulangirira nti ye anaabanga omukulu owookusatu mu bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olw'effulungu, n'amwambika omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, n'alangirira ku ye nga ye anaabanga omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.