Daniel 5:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu Yeekaalu, y'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi, kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinyweramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne baleeta ebikopo ebya zaabu bye baggya mu Ssinzizo, ye nnyumba ya Katonda ey'omu Yerusaalemu. Kabaka, n'abakungu be, n'abakyala be, era ne baganzi be, ne babinyweramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu yeekaalu ey'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi: ne kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinywesa.