Daniel 5:6 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo entunula ya kabaka ne kyuka, naatya nnyo, n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endabika ya kabaka n'ekyuka, kabaka ne yeeraliikirira nnyo, n'akankana, n'amaviivi ge ne gakubagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amaaso ga kabaka ne gawaanyisibwa gy'ali, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza: n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana.