Daniel 5:7 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'alagira mu ddoboozi ery'omwanguka baleete abafumu, abalogo, n'abalaguzi. Kabaka n'agamba abagezigezi ab'e Babbulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma okuwandiika okwo, era n'ategeeza amakulu gaakwo, ajja kwambazibwa olugoye olw'effulungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era ajja kuba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aleekaana baleete abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo. Abagezi ab'omu Babilooni abo bwe bajja, kabaka n'abagamba nti: “Oyo anaasoma ekiwandiiko ekyo, n'antegeeza amakulu gaakyo, ajja kwambazibwa ekyambalo eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago, ogwambalwa abakungu, era anaaweebwa ekifo ekyokusatu eky'obufuzi mu bwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogerera waggulu okuyingiza abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi. Kabaka n'ayogera n'agamba abagezigezi ab'e Babulooni nti Buli anaasoma okuwandiika kuno, era anandaga amakulu gaakwo, alyambazibwa olw'effulungu, era aliba n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era aliba mukulu ow'okusatu mu bwakabaka.