Daniel 5:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Berusazza ne yeyongera nnyo okweraliikirira, n'entunula ye n'ekyuka, abaami be ne basoberwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Belusazzari ne yeeyongera okutya ennyo, endabika ye n'ekyuka, abakungu be ne basoberwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Berusazza n'alyoka yeeraliikirira nnyo, amaaso ge ne gawaanyisibwa gy'ali: abaami be ne babulwa amagezi.