Daniel 6:10 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Danyeri bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye, n'ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga gagguddwawo nga goolekedde Yerusaalemi. Nga bwe yakolanga edda, n'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, ne yeebaza Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Daniyeli bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye. Amadirisa gaayo, mu kisenge kye ekya waggulu, gaggulanga nga goolekedde Yerusaalemu. N'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, era n'atendereza Katonda we, nga bwe yakolanga edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Danyeri bwe yananya ng'ebiwandiikiddwa bissibbwako akabonero, n'ayingira mu myumba ye: (era amadirisa ge gaali gagguddwawo mu nju ye nga goolekedde Yerusaalemi;) n'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, ne yeebaza mu maaso ga Katonda we, nga bwe yakolanga edda.