Daniel 6:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?” Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balyoka bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne bagamba nti, “Tewassa mukono ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku asatu (30), wabula ng'asabye ggwe, Ayi kabaka, alisuulibwa mu mpuku omuli empologoma?” Kabaka n'addamu nti, “Ekigambo ekyo bwe kiri ddala, ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balyoka bagenda eri kabaka, ne boogera ku kiragiro kye yakola. Ne bagamba nti: “Tewateeka omukono gwo ku kiragiro ekigamba nti okumala ennaku amakumi asatu, buli anaabaako ky'asaba lubaale, oba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, alisuulibwa mu bunnya omuli empologoma?” Kabaka n'addamu nti: “Ddala bwe kiri era ekiragiro ekyo kyakakasibwa ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balyoka basembera, ne boogera mu maaso ga kabaka ku kiragiro kya kabaka: nti Tewassa kabonero ko ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng'asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey'empologoma? Kabaka n'addamu n'ayogera nti Ekigambo ekyo kya mazima, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.