Daniel 6:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bamugamba nti, “Danyeri oyo, omu ku banyage abaava mu Yuda, akunyooma, Ayi kabaka, wadde n'ekiragiro kye wassaako omukono ggwo, naye asaba katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagamba kabaka nti: “Daniyeli, omu ku baanyagibwa mu Buyudaaya, akunyooma ggwe, ayi Ssaabasajja, wamu n'ekiragiro kye wassaako omukono gwo, era aliko by'asaba Lubaale we emirundi esatu buli lunaku.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balyoka baddamu ne boogerera mu maaso ga kabaka nti Danyeri oyo, ow'omu baana ab'obunyage bwa Yuda, takulowooza, ai kabaka, newakubadde ekiragiro kye wassaako akabonero ko, naye asaba emirundi esatu buli lunaku.