Daniel 6:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abo ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti, “Tegeera, Ayi kabaka, nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro newakubadde etteeka kabaka ly'amaze okukakasa, eriyinza okukyusibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abo, era ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, kimanye nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro wadde etteeka erimala okukakasibwa kabaka, eriyinza okukyusibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja abo ne bakuŋŋaana eri kabaka, ne bagamba kabaka nti Tegeera, ai kabaka, nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewabanga kiragiro newakubadde etteeka kabaka ly'anyweza eriwaanyisikika.