Daniel 6:16 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'alyoka alagira, ne baleeta Danyeri, ne bamusuula mu mpuku omuli empologoma. Kabaka n'agamba Danyeri nti, “Katonda wo oyo gw'oweereza bulijjo, anaakuwonya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'alagira ne baleeta Daniyeli, ne bamusuula mu bunnya omuli empologoma. Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wo gw'osinza bulijjo, akuwonye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alyoka alagira, ne baleeta Danyeri, ne bamusuula mu mpuku ey'empologoma. Kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Katonda wo gw'oweerezanga bulijjo, oyo anaakuwonya.