Daniel 6:17 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'empuku: kabaka n'alissaako akabonero ke ye, era n'akabonero ak'abaami be: ekigambo kyonna kireme okukyusibwa eri Danyeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'obunnya, kabaka n'aliteekako akabonero ke ak'envumbo, wamu n'akabonero k'abakungu be, waleme kubaawo kikyusibwa ku kibonerezo kya Daniyeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'empuku: kabaka n'alissaako akabonero ke ye, era n'akabonero ak'abaami be: ekigambo kyonna kireme okuwaanyisibwa eri Danyeri.