Daniel 6:18 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'addayo mu lubiri lwe, ekiro ekyo n'atalya mmere, era n'agaana n'okumuleetera ebivuga eby'okumusanyusa: otulo ne tumubula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'addayo mu lubiri lwe. Ekiro ekyo n'atalya ku mmere era n'atakkiriza kumuleetera bivuga eby'okumusanyusa, era n'ateebaka ku tulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alyoka agenda mu lubiri lwe, ekiro ekyo n'atalya mmere: so tebaamuleetera bivuga mu maaso ge: otulo ne tumubula.