Daniel 6:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga waggulu waabwe eriyo abakulu basatu, omu ku abo nga ye Danyeri. Abaamasaza abo babanjulirenga musolo, kabaka aleme okufiirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga balabirirwa abakulu basatu, omu ku basatu abo nga ye Daniyeli. Kabaka Dariyo n'alagira abafuzi b'amasaza abo, banjulirenga abakulu abasatu omusolo, kabaka aleme kufiirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga waggulu waabwe eriyo abakulu basatu, omu ku abo nga ye Danyeri: abaamasaza abo babalenga omusolo mu maaso gaabwe, kabaka aleme okufiirwa.