Daniel 6:20 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yasemberera empuku omwali Danyeri, n'akoowoola Danyeri mu ddoboozi ery'ennaku nti, “Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo gw'oweerezanga bulijjo, ayinziza okukuwonya empologoma?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuuka ku bunnya, n'akoowoola Daniyeli mu ddoboozi ery'ennaku nti: “Ggwe Daniyeli, omuweereza wa Lubaale Nnannyinibulamu, Lubaale wo gw'osinza bulijjo yasobodde okukuwonya empologoma?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe yasembera ku mpuku awali Danyeri, n'ayogererera waggulu n'eddoboozi ery'ennaku: kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw'oweerezanga bulijjo, ayinza okukuwonya eri empologoma?