Daniel 6:23 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira okuggyamu Danyeri mu mpuku. Awo Danyeri n'aggyibwa mu mpuku, nga tewali kabi konna kamutuuseeko, kubanga yali yeesize Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira baggye Daniyeli mu bunnya. Ne bamuggyayo, ne balaba nga taliiko kabi n'akatono, kubanga yali yeesize Katonda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alyoka asanyuka nnyo nnyini, n'alagira okuggyamu Danyeri mu mpuku. Awo Danyeri n'aggibwa mu mpuku, so mpaawo kabi konna akaamulabwako, kubanga yali yeesize Katonda we.