Daniel 6:24 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey'empologoma, bo, n'abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya bwe mpuku, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja bali abaaloopa Daniyeli, ne babasuula mu bunnya omuli empologoma, bo, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe. Empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya, ne zibabwebwena amagumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey'empologoma, bo, n'abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibayinza, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna, nga tebannatuuka wansi ddala mu mpuku.