Daniel 6:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti, “Emirembe gibeere gye muli!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Daliyo n'alyoka awandiikira abantu bonna, amawanga n'ennimi, abatuula mu nsi zonna, nti, “Emirembe gyeyongere okuba mu mmwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Dariyo n'awandiikira abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna ab'omu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okuba nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Daliyo n'alyoka awandiikira abantu bonna, amawanga n'ennimi, abatuula mu nsi zonna: nti Emirembe gyeyongere gye muli.