Daniel 6:26 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa. “Kubanga ye Katonda omulamu, abeerera emirembe gyonna; n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo, n’okufuga kwe tekulikoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Katonda wa Danyeri: kubanga Oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe tebulizikirizibwa so n'okufuga kwe tekulikoma;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nteeka etteeka nti mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Lubaale wa Daniyeli: kubanga Oyo ye Lubaale Nnannyinibulamu, anaafuganga, omunywevu emirembe gyonna. Obwakabaka bwe, bwe butalizikirizibwa, n'obuyinza bwe tebuliggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange abantu bakankanenga batyenga mu maaso ga Katonda wa Danyeri: kubanga oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa n'okufuga kwe kulituukira ddala ku nkomerero: