Daniel 6:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Danyeri n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza kubanga yalina omwoyo omulungi, era kabaka yali alowooza okumuwa okufuga obwakabaka bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Daniyeli n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza, olw'omutima omulungi gwe yalina, era kabaka yali alowooza okumuwa obwa Katikkiro mu bwakabaka bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Danyeri oyo n'agulumizibwa okusinga abakulu n'abaamasaza, kubanga omwoyo omulungi ennyo gwali mu ye: era kabaka yali alowooza okumuwa okufuga obwakabaka bwonna.