Daniel 6:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwawulira ebyo, abakulu abalala ababiri, n'abaamasaza ne bafuba okunoonya ekikyamu mu ngeri Danyeri gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga yali mwesigwa, nga talina kibi kyonna, wadde akabi konna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakulu banne, n'ab'amasaza, ne bafuba okunoonya ekikyamu, mu ngeri Daniyeli gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga Daniyeli yali mwesigwa, nga talina kikyamu na kimu wadde eky'obukumpanya kyonna ky'akola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu n'abaamasaza ne balyoka banoonya ensonga eneesinga Danyeri mu bigambo eby'obwakabaka: naye ne batayinza kulaba nsonga newakubadde akabi: kubanga yali mwesigwa, so ne watalabika mu ye kwonoona kwonna newakubadde akabi.