Daniel 6:5 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abo ne bagamba nti, “Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, wabula ng'ekwata ku bigambo eby'amateeka ga Katonda we.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja abo ne bagamba nti: “Tetujja kuzuula kikyamu kya kuwawaabira Daniyeli, okuggyako nga tumuwawaabira bifa ku mateeka ga Lubaale we.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja abo ne boogera nti Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, bwe tutaligiraba eri ye mu bigambo eby'amateeka ga Katonda we.