Daniel 6:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu abasatu, ab'obwakabaka, n'abamyuka baabwe, abaamasaza, abakungu n'abafuzi abalala bonna, bateesezza ne bassakimu nti Ayi kabaka, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna mu nnaku asatu (30), okuggyako ng'asinza ggwe, asuulibwe mu mpuku omuli empologoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulu bonsatule mu bwakabaka, n'abamyuka baabwe, n'ab'amasaza, n'abakungu, n'ab'amagombolola, bateesezza ne bassa kimu nti ggwe, ayi Ssaabasajja, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu nti okumala ennaku amakumi asatu, omuntu anaabaako ky'asaba lubaale, oba ky'asaba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, asuulibwe mu bunnya omuli empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu bonsatule ab'obwakabaka, abamyuka n'abaamasaza, abakungu n'abafuga, bateesezza wamu okuteeka etteeka lya kabaka, n'okulagira ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng'asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey'empologoma.