Daniel 7:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo endala zo zagibwako obuyinza bwazo, kyokka obulamu bwazo ne bwongerwayo ekiseera ekigere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'obuyinza bw'ebisolo ebirala ne bubiggyibwako, wabula ne bikkirizibwa okusigala nga biramu okumala ekiseera ekigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n'ekiseera.