Daniel 7:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kwolesebwa kwe nnafuna ekiro, nnalaba eyafaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ajja n'ebire eby'omu ggulu, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, nayanjulibwa mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kulabikirwa kwe nafuna ekiro, nalaba eyafaanana ng'Omuntu, n'ajja n'ebire, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, ne bamwanjula mu maaso ge. 1:7,13; 14:14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng'omwana w'omuntu n'ebire eby'omu ggulu, n'ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.