Daniel 7:18 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abantu abatukuvu b'Oyo Atenkanika, baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n'emirembe; era n'okutuusa emirembe gyonna.