Daniel 7:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njagala okumanya amazima agafa ku nsolo ey'okuna, etaafaanana ziri zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo nga ga kyuma, n'enjala zaayo nga za kikomo, era eyalya, n'emenyaamenya, n'erinnyirira ebyasigalawo n'ebigere byayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne njagala okumanya ekituufu ekifa ku kisolo ekyo ekyokuna, ekyali ekyawufu ku ebyo ebirala byonna, eky'entiisa ennyo, amannyo gaakyo nga ga kyuma, n'enjala zaakyo nga za kikomo, era ekyalya ne kibwebwena bye kyasangiriza, ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekyafikkawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka njagala okumanya amazima g'ensolo ey'okuna, etaafaanana ng'ezo zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo ga kyuma, n'enjala zaayo za kikomo: eyalya, n'emenyaamenya, n'esambirira ebyasigalawo n'ebigere byayo: