Daniel 7:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Danyeri n'agamba nti, “Mukwolesebwa kwange ekiro, nnalaba, empewo nga zikunta okuva ku njuyi zonna ennya, ne zisikuula ennyanja ennene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yanyumya nti: Mu kulabikirwa kwange ekiro, nalaba embuyaga eyali ekunta okuva ku njuyi zonna ennya, ng'esiikuula ennyanja ennene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Danyeri n'ayogera nti Natunuulira mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, empewo ez'omu ggulu ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene.