Daniel 7:20 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne njagala okumanya ku by'amayembe ekkumi (10) agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu (3), lyalina amaaso, n'akamwa akayogera eby'okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga gali gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne njagala okumanya ekituufu, ekifa ku mayembe ekkumi, agaali ku mutwe gwakyo, n'ejjembe eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu. Eryo lye jjembe eryalina amaaso n'akamwa akaayogera eby'okwewaana, era eryalabika okuba eggumu okusinga gannewaalyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, asatu ne gagwa mu maaso gaalyo: lye jjembe eryo eryalina amaaso, n'akamwa akayogera ebikulu, obukanu bwalyo bwasinga gannaago obugumu.