Daniel 7:22 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala musango, abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu ne baweebwa obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala omusango, abantu ba Atenkanika ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu be abo ne baweebwa obwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka.