Daniel 7:24 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ate amayembe ago ekkumi, be bakabaka ekkumi (10) abaliva mu bwa kabaka obwo, naye walisitukawo omulala alibaddirira, aliba wa njawulo, era aliggyawo ba kabaka basatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate amayembe ago ekkumi agaava mu bwakabaka buno, be bakabaka ekkumi abalisitukawo ne bafuga obwakabaka obwo. Walisitukawo omulala alibaddirira. Ye aliba wa njawulo ku abo, era aliggyawo bakabaka basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayembe ago ekkumi, mu bwakabaka obwo muliva bakabaka kkumi abaligolokoka: n'omulala alibaddirira aligolokoka: naye talifaanana ng'ab'olubereberye, naye aliggyawo bakabaka basatu.