Daniel 7:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo ali waggulu ennyo, era aliyigganya abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Era aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera ne biseera n'ekitundu kye kiseera bwe biriggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alyogera bubi ku Oyo Atenkanika, era aliyigganya abatukuvu ba Atenkanika. Aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, era alifugira abatukuvu ba Katonda okutuusa ekiseera, n'ebiseera, n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alyogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwaanyisa ebiseera n'amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaawo.