Daniel 7:27 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo obwakabaka n'okufuga n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Obwakabaka bw'Oyo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza era galimugondera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo obwakabaka, n'obufuzi, n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu ba Atenkanika. Obwakabaka bw'Atenkanika buliba bwa lubeerera, n'amatwale gonna galimuweereza, era galimugondera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obwakabaka n'okufuga n'obukulu obw'obwakabaka obuli wansi w'eggulu lyonna, abantu ab'abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza galimuwulira.