Daniel 7:28 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo ebyo we bikoma wano. Era nze Danyeri, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ntunula, naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo ebyo, awo we byakoma. Era nze Daniyeli, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ndabika. Naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyo we kikoma wano. Nange Danyeri, ebirowoozo byange byanneeraliikiriza nnyo, n'amaaso gange ne gawaanyisibwa gye ndi: naye ne nzisa ekigambo ekyo mu mutima gwange.