Daniel 7:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyasooka yali efaanana ng'empologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro eby'empungu; bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byayo ne bigimaanyibwako, n'eyimusibwa okuva ku ttaka, n'eyimirira ku magulu abiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima ogw'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, naye nga kirina ebiwaawaatiro ng'empungu. Bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byakyo ne bimaanyibwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ey'olubereberye yaliŋŋanga mpologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro by'empungu: ne ntunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n'eyimusibwa okuva ku nsi, n'eyimirizibwa n'ebigere bibiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima gw'omuntu.