Daniel 7:5 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate ne wavaayo ensolo endala, eyokubiri, eno yaliŋŋanga ddubu, era yali egalamidde ku luuyi lumu ng'esitusemu katono ku magulu gaayo ag'emabega, nga n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti, ‘Situka, olye ennyama ennyingi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wavaayo ekisolo ekyokubiri ekyali kifaanana ng'eddubu, ng'oluuyi lwakyo olumu lusituseemu. Kyali kikutte embiriizi ssatu mu kamwa kaakyo, nga kizirumizza mannyo. Ne bakigamba nti: “Situka olye ennyama nnyingi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba ensolo endala, ey'okubiri, yaliŋŋanga ddubu, era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka, olye ennyama ennyingi.