Daniel 7:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo nnendaba ensolo endala, nga eringa engo, yalina ebiwaawaatiro ebina eby'ekinnyonyi ku mabega gaayo. Era ensolo eyo yalina emitwe ena: n'eweebwa n'obuyinza okufuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyatunula, ne wavaayo ekisolo ekirala. Kyali kifaanana ng'engo, naye nga ku mabega gaakyo, kyalina ebiwaawaatiro bina, ebyali bifaanana ng'ebiwaawaatiro by'ekinyonyi. Era kyalina emitwe ena. Ekisolo ekyo ne kiweebwa obuyinza okufuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ntunula, era, laba, endala, ng'engo, eyalina ebiwaawaatiro ebina eby'ennyonyi ku mabega gaayo: era ensolo yalina n'emitwe ena: n'eweebwa okufuga.