Daniel 7:8 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ate laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne likuuliramu ddala amayembe asatu ku gali agalisookawo. Lyalina amaaso nga ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwegulumiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ne ndaba ejjembe eddala ettono eryamera mu go, ne likuuliramu ddala amayembe amalala asatu, ku gali agaalisookawo. Ejjembe lino lyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwewaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag'olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng'amaaso g'omuntu, n'akamwa akoogera ebikulu.