Daniel 7:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era nga nkyali awo ne ndaba, “entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo, n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga. Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ez'oku mutwe gwe nga njeru ng'ebyoya by'endiga ebirungi. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga zaayo muliro ogwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula. Ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ze nga njeru ng'ebyoya by'endiga. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga z'entebe eyo zaali muliro ogwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n'omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira; n'enviiri ez'oku mutwe gwe ng'ebyoya by'endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka.