Daniel 8:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'obujeemu eggye awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne lituukiriza buli kye lyayagala okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wateekebwawo engeri y'okusinza ewakanya okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. Ejjembe ne liggyawo eddiini ey'amazima, ne lituukiriza bye lyayagala okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna olw'okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa.